RCC w'e Nakawa alabudde abaserikale abeekobaana n'abamenyi b'amateeka

Feb 12, 2021

RCC w’e Nakawa, Herbert Anderson Burora alabudde abaserikale ba poliisi n'aba LDU abakola ebikwekweto ne bakwata abantu oluvannyuma ne babasoloozaamu ssente ne babayimbula nga tebavunaaniddwa mu kkooti.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya JAMES MAGALA                                                                                                       RCC w’e Nakawa, Herbert Anderson Burora alabudde abaserikale ba poliisi n'aba LDU abakola ebikwekweto ne bakwata abantu oluvannyuma ne babasoloozaamu ssente ne babayimbula nga tebavunaaniddwa mu kkooti.

Burora okwogera bino, yasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwayitiddwa Mmeeya w’e Nakawa, Ying. Ronald Balimwezo e Kitintale okusala amagezi ku ngeri y’okulwanyisaamu bakifeesi abasitudde enkundi mu bitundu okuli; Mutungo, Luzira, Kitintale n’awalala.

Bassentebe ba LC ez’enjawulo okuva mu Munisipaali y’e Nakawa nga bakulembeddwa ssentebe wa zzooni 11 e Kitintale, David Wasiiye, baalopedde Burora abamu ku basajja be mu poliisi abeekobaana ne bakifeesi okutigomya ebitundu byabwe ekintu ekyabeeraliikirizza ennyo.

Bassentebe baategeezezza nti eky’ennaku abamenyi b’amateeka bwe bakwatibwa wayita ennaku mbale ne bateebwa olwo ne baddamu okutigomya abatuuze. Ye omubaka wa Nakawa East omulonde, Ying. Ronald Balimwezo yavumiridde abamu ku bakulembeze b’alumiriza okussa ebyobufuzi mu nsonga z’ebyokwerinda ky’agamba nti kye kivuddeko bakifeesi okweyongera mu Nakawa.

Yasabye wabeewo okukolera awamu okusobola okulwanyisa ebikolwa bino. Balimwezo era yajjukizza bassentebe b’ebyalo okwettanira okutuuza enkiiko z’ebyalo kiyambeko okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Mu birala ebyakkaanyiziddwaako mwabaddemu okuwandiisa abatuuze bonna ku byalo ne bodaboda zonna ezikola mu Munisipaali y’e Nakawa.

Ate Mmeeya w’e Nakawa omulonde, Paul Mugambe,yasabye abaserikale okuyingirako mu bitundu eby’enzigotta.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});