KCCA ekoze ekikwekweto n'eyoola abatunda eby'okulya e Kasubi ne Kibuye

Jun 28, 2021

KCCA ne poliisi bakoze ekikwekweto ku basuubuzi ababadde bayiye emmaali yaabwe wabweru w’akatale k’e Kasubi ne Kibuye n’ebiyoola ekyabaleese nga bakulukusa maziga.Ekikwekweto kino kyatandikidde Kasubi nga kikulembeddwamu KCCA oluvannyuma lw’abasuubuzi abatunda eby’okulya mu katale akapya  okugenda ku kitebbe kya KCCA ne beemulugunya nga bwe waliyo abantu beebagobye mu kibuga ne bagya ne batandika okutunddira eby’okulya wabweru wa katale kano ekintu ekitakyabaganye kufuna mukisa kutunda byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

BYA JOSEPH MUTEBI

KCCA ne poliisi bakoze ekikwekweto ku basuubuzi ababadde bayiye emmaali yaabwe wabweru w’akatale k’e Kasubi ne Kibuye n’ebiyoola ekyabaleese nga bakulukusa maziga.

Fi 4(1)

Fi 4(1)

Ekikwekweto kino kyatandikidde Kasubi nga kikulembeddwamu KCCA oluvannyuma lw’abasuubuzi abatunda eby’okulya mu katale akapya  okugenda ku kitebbe kya KCCA ne beemulugunya nga bwe waliyo abantu beebagobye mu kibuga ne bagya ne batandika okutunddira eby’okulya wabweru wa katale kano ekintu ekitakyabaganye kufuna mukisa kutunda byabwe.

Fi 9(3)

Fi 9(3)

Bakira emiranga n’okwevulunga mu ttaka byasinze kuva mu bakyala n’abaami ababadde batunda kasooli, amenvu, enddagala, ebikajjo, amassepiki, Ffene , muwoggo ne kalonda omulala beebasinze okukosebwa.

Jane Muwonge agamba nti mu butuufu ekuba omunnaku tekya kubanga yali atunda mu akeedi ne baabaggalawo, nasasula omuserikale akuuma ekizimbe emmaali nagigyayo mu dduuka yabadde agitunddira ku luguudo KCCA n’egiwamba engoye ze ne bazitwala ate obussente bweyabadde nabwo eka nasalawo asuubule ebirime nabyo babiwambye

Fi 10(1)

Fi 10(1)

“Nze nkimaanyi Corona anaba tananzitta ng’obwavu bunzisse nga kiva ku gavumenti okututulugunya. Nandiisazzewo ne ngenda okwetunda naye n’abasajja kati tebakyakwana batya abakyala nti balina Corona kati nze nkole ntya?’ Bwatyo Muwonge bweyategeezezza.

Ekikwekweto bwekyavudde wano nekyoleekera abasuubuzi abakoleera ku luguudo okuva e Nankulabye okutuuka e Kibuye gye bayodde n’ababadde bayokeera enkooko ku  luguudo, emiyembe ne kalonda omulala era nabo basigadde mu maziga.

Fit 1(9)

Fit 1(9)

Omwogezi ewa KCCA Lawrence Niwabine yagambye nti kino kikyali kituuza kubanga ayo atagondere kiragiro kya  Pulezidenti tetugya ku muleeka kumenya mateeka nga tulaba. Yawadde  abaagala okutunda eby’okulya amagezi bagende mu butale munda basuleeyo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});