Engeri gy’oyinza okufuna ssente mu mpuuta

May 17, 2021

ABAVUBUKA bangi bakaaba obutaba na mirimu gya kukola kyokka nga n’egyo egiriwo abamu bagyekanasa nga balaba gya bukyaafu oba tegisaanye kukolebwa naddala abasomyeko.

NewVision Reporter
@NewVision

Falujeh Kikambi, musuubuzi era mutunzi wa mpuuta ku mwalo gwa Portbell e Luzira okumala akaseera, annyonnyodde ku ngeri gy’akolamu ssente mu mulimu guno bangi gwe balaba nga gwa bujama olw’okuwunya kwayo.

Kikambi agamba nti, yatandika omulimu guno mu ngeri y’okugezesa alabe oba gunaatambula. Yatandika obusuubuzi n’empuuta emu nga kuno kwe yajja ayongera endala ng’akozesa amagoba ge yafuna mu mpuuta eyasooka.

Agamba nti, mu kiseera kino asobola okusuubula empuuta ssatu ennene ddala olunaku era zonna n’azitunda n’azimalawo.

Buli kkiro y’empuuta agisuubula ku 13,000/- olwo n’agitunda wakati wa 17,000/- ne 18,000/- olwo naye n’afunako amagoba agali wakati wa 4,000/- ne 5,000/- ku buli kkiro.

Kino agamba nti, kimusobozesa bulungi okubala n’afuna mu mulimu guno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});