Omuwendo gw'abakyala abazaala gukendedde -Minisita Amos Lugoloobi
Jan 06, 2025
MINISITA omubeezi ow’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugolobi musanyufu olw’omuwendo gw’abakyala abafuna embuto okukendeera kyagambye nti kyakuyambako eby’enfuna by’eggwanga okukula.

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA omubeezi ow’okuteekerateekera eggwanga Amos Lugolobi musanyufu olw’omuwendo gw’abakyala abafuna embuto okukendeera kyagambye nti kyakuyambako eby’enfuna by’eggwanga okukula.
Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola embalirira y’eggwanga okwanjula enteekateeka y’okukulakulanya eggwanga eya National Development Plan IV, n’okutangaaza kubituukiddwako mu NDPIII, Lugolobi agambye nti omuwendo gwabuli mukyala azaala abaana guse okuva ku bitindu 6 n’obutundutundu 2 mu 2010 ne gudda ku bitundu 5 n’obitundutundu 2 mu 2022/23.
Ababaka nga bali mu committee
Yadde nga ye Lugolobi kino akisanyukidde, tekisanyusizza babaka ku kakiiko era ssentebe w’akakiiko Patrick Isiagi asabye minisita anyonyole kiki eggwanga kyerifunamu nga omuwendo gw’abazaala gweyongera kuka wansi nagamba nti omuwendo gusaana negwekubisaamu emirundi essatu nga kino minisita agambye ate kiba kyabulabe nnyo.
Munsinsikano yemu, minisita Lugolobi agambye yadde nga enguudo ezikoleddwako zeyongedde okutuuka ku kilo mita 6,999 mu 2023/24 okuva ku kilo mita 3,112 mu 2010/11, enguudo ezimi kati ziri mumbeera mbi nga zetaaga okuddabirizibwa era nalaga n’obwetavu gavumenti mukusa ensimbi mukutumbuula engeri zentambula endala omuli ennyonyi, ku mazzi, eggaali z’omuka kiyambeko okwanguya eby’entambula n’ensimbi enyingi bannayuganda zebasasanya okutambulira ennyo ku nguudo.
No Comment