Be baakuba amasasi mu kwekalakaasa ku bya Bobi balaajanye

Dec 10, 2020

NNAKAWERE Shakira Nyemera 20, omutuuze w'e Banda B-2 gwe baakuba amasasi ne gamuyitamu okutuuka mu mugongo ng'abantu beekalakaasa okukwata Bobi Wine alaajanye nti kati avundira mu nnyumba olw'okubulwa obujjanjabi.

NewVision Reporter
@NewVision

NNAKAWERE Shakira Nyemera 20, omutuuze w'e Banda B-2 gwe baakuba amasasi ne gamuyitamu okutuuka mu mugongo ng'abantu beekalakaasa okukwata Bobi Wine alaajanye nti kati avundira mu nnyumba olw'okubulwa obujjanjabi.

Nabirye ng'alaga essasi we lyamukuba.

Nyemera agamba nti yali yaakazaala wiiki bbiri omwana omulenzi, Dustan Wanjala ng'ava okugula sabbuuni n'ebyokulya, agenda okuwulira ng'asannyaladde, ekyaddako kugwa wansi era okuddamu okutegeera ng'ali mu ddwaaliro e Mulago ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro.

"Bannongoosa ebbeere ne banzigyamu amasasi agankubamu ekituli okuva mu bbeere okutuuka mu mugongo naye ebiwundu binnuma nnyo. Omwana wange Katonda yannyamba obutattibwa bajaasi bano kubanga namuleka mu nnyumba, wabula mu kiseera kino ekizibu kye nnina omwana tayonka kubanga tumutiisa okuyonka obuganga bw'amasasi agankubwa mu bbeere nga n'okutuusa kati ebiwundu tebinnawona.

Taata w'omwana yandekawo n'agenda ebweru saddamu kumuwuliza ne nsalawo okwekolerera ndabirire omwana wange. Kati nfuuse mulema ne mu dduuka gye mbadde nkola siyinza kuddamu kukola kubanga sikyalina kye nsobola, singa gavumenti ennyamba n'endiyirira n'obuwumbi nga busatu ne nfuna ssente ezeegulira ettaka ne nzimbako akayumba ne ntegekera omwana wange ono.

Omwana kati anywa mata gokka naye ne ssente ezigagula zaabula," Nyemera bw'agamba. Ate Shakira Nabirye 24, omutuuze w'e Banda B-2, mu Nakawa gwe baakuba amasasi ng'ava okugula akawunga ku dduuka, yavuddemu olubuto lw'abaana basatu.

Ono agamba nti bba olwamaze okubaziika n'abula kati ennaku ttaano tadda waka. Amasasi gaamukubwa abantu lwe beekalakaasa olw'okukwata Bobi Wine mu disitulikiti y'e Luuka. Ono yali ava kugula kawunga ku ssaawa nga 8:00 ez'emisana. Agamba yeekanga agudde wansi era okuddamu okutegeera zaali ssaawa 6:00 ez'ekiro.

Agamba nti essasi eryamukubwa mu bbeere lyayitamu ne likoona ku kibumba n'amawuggwe. Agamba awulira obulumi obw'amaanyi bw'aba assa oba okwasimula. Mmeeya w'e Nakawa, Ying. Ronald Balimwezo eyagenze okulaba ku bakyala bano yasabye gavumenti eveeyo edduukirire abakyala bano kubanga bali mu mbeera mbi.

"Ng'enda kubagulira ku by'okulya n'amakerenda gattako okubawa ambyulensi yange ebatwale mu ddwaaliro e Mulago naye nsaba abakyala bano baliyirirwe," Balimwezo bwe yategeezezza. Alina obuyambi bwonna kuba ku ssimu 0701951079.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});