SC Villa yaakukyalira MYDA FC e Tooro

Mar 31, 2021

LIIGI ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League ekomawo nkya ku lw’okuna nga SC Villa FC ekyalira MYDA e Tooro. 

NewVision Reporter
@NewVision

Liigi yali yawummulamu ennaku 14 oluvannyuma lwa ttiimu y’eggwanga okuzannya emipiira ebiri egy’okusunsulamu abalyetaba mu mpaka za AFCON e Cameroon 2021. 

Wabula omutendesi wa MYDA Abdu Musafiri Samadu aluubirirwa kusuuza SC Villa mupiira guno ng’anoonya obuwanguzi obw’okubiri mu liigi kuba buli mupiira mukulu nnyo eri ttiimu yaffe. 

Emmanuel Waswa ku kkono ng'attunka ne Joakim Ojera

Emmanuel Waswa ku kkono ng'attunka ne Joakim Ojera

“Buli mupiira tugenda kuguzannya nga fayinolo kuba tukimanyi bulungi nti twagala kulwanyisa kyambe sizoni eno”. Musafiri bwe yategezezza. 

 Edward Kaziba atendeka Villa mugumu nti abazannyi be bali mu mbeera nnungi era mugumu nti egenda kuvaayo n’obubonero busatu okulaba nga asetula mu kifo kye balimu. 

Abazannyi ba SC VILLA

Abazannyi ba SC VILLA

Sc Villa bwewangula ensiike eno esetula nedda mu kifo kya 4 n’obubonero 28 so nga yo MYDA FC erwanyisa kyambe. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});