Bassita ba Chelsea balwanidde mu kutendekebwa
Apr 06, 2021
Ekisaawe kya Cobham, awatendekerwa Chelsea kyafuuse eddwaaniro ku Paasika, omuzibizi Antonio Rudiger ne ggoolokipa Kepa Arrizabalaga bwe baavuddewo obubi oluvannyuma lw’omu okuzannyisa ettima.

NewVision Reporter
@NewVision
Ekisaawe kya Cobham, awatendekerwa Chelsea kyafuuse eddwaaniro ku Paasika, omuzibizi Antonio Rudiger ne ggoolokipa Kepa Arrizabalaga bwe baavuddewo obubi oluvannyuma lw’omu okuzannyisa ettima.
Rudiger yatemudde Arrizabalaga ne beekwata amataayi n’okuwaanyisiganya ebisongovu n’ekyaddiridde ye mutendesi Thomas Tuchel okusindika omu (Rudiger) mu kasenge gye bambalira okukkakkanya embeera.
Kuno kwe kutendekebwa okwasoose oluvannyuma lwa West Brom okulumba Chelsea ku Stamford Bridge n’egiwuttula ggoolo 5-2 mu Premier ku Lwomukaaga.
Omuzibizi Marcos Alonso ng’ayogera ku kacankalano kano yagambye nti, “Ekyo kiraga bumalirivu bwa ttiimu. Buli muzannyi akola na maanyi era embeera eno ebaawo nnyo mu ttiimu ezirina eky’amaanyi kye ziruubirira.” Yagasseeko nti entalo ez’ekika kino tezijja kukoma kubaawo naye ekirungi zisigala ku bisaawe.
Chelsea eri mu lutalo lw’okumalira mu ‘Top 4’ ng’eri mu kyakutaano ku bubonero 51, West Ham (52), Tottenham ne Liverpool (49) ate Everton erina 47 kyokka ng’ebanjaayo omupiira. Enkya ku Lwokusatu, Chelsea ekyalira FC Porto e Portugal mu luzannya olusooka olwa ‘quarter’ za Champions League.
No Comment