Imported

Hajji Kamoga ayongedde ebbugumu mu wali wa Idd

HAJJI Muhamadi Kamoga owa Kamoga property consultant e Lubowa ayongedde ebbugumu mu kazannyo ka WALI WA IDD ku BukeddeTv1 ne 2,Bukedde Fa Ma Embuutikizi ne Bukedde olupapula bwawaddeyo ekyapa kye ttaka.

Hajji Kamoga ayongedde ebbugumu mu wali wa Idd
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Kamoga yegasse ku kkampuni endala okuli Prestige ne S.cook abasooka okwegatta ku Vision group munteekateeka eno. Ekyapa kino Kamoga yakikwasizza Farid Mpagi ne Simon Maseruka aba Bukedde FaMa ku kitebe kya Vision Group e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero ku Lwokutaano. 

Hajji Muhamadi Kamoga ne mutabani we nga bakwasa Farid Mpagi ne Simon Maseruka aba Bukedde ekyapa ky'ettaka kye bawaddeyo mu byassava bya Iddi

Hajji Muhamadi Kamoga ne mutabani we nga bakwasa Farid Mpagi ne Simon Maseruka aba Bukedde ekyapa ky'ettaka kye bawaddeyo mu byassava bya Iddi

Yagambye nti ekyapa kino kisangibwa Sserinya –Wakiso  nga kya mayiro era ng’omuntu yenna anakiwangula kyakumukwasibwa nga kiri mu maanya ge. Munteekateeka eno ,emikutu gya Vision Group abalabi n’abawuliriza mwe bagenda okuyita okuwangula ebyassaava bino.  

Farid Mpagi yategeezezza nti ebintu bino baakubigabira  abasiibi n’abantu bonna mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan. Yayongeddeko nti ng’oggyeeko okuwangula ekikapu ,abantu bagenda kuwangula n’ensimbi enkalu . 

Mpagi yanyonnyodde nti omuntu okuwangula alina kwekuumira ku  BukeddeTv1 ne 2 mu pulogulaamu nga ddaaku ku makya okuva ku ssaawa 10:00 okutuuka 11:00 ez’okumakya nga bukya ,Akabbinkano Extra ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo ne mu Tukyogereko buli Lwakubiri n’olwokusatu.

Omulabi wa Bukedde Tv buli lunaku alina omukisa okuwangula mu kibuuzo ekigenda okuba nga kiyita ku ttivvi. Simon  Maseruka yasiimye Hajji Kamoga olw’omutima omugabi n’okuvaayo naddiza ku baalabi nabawuliriza b’emikutu gya Vision Group era nakubiriza bannayuganda okwekuumira ku mikutu gino mokusobola okwewangulira ku byassaava. 

Tags:
Wali wa Idd
Hajji Kamoga
Hajji Muhamadi Kamoga
BukeddeTv1
Bukedde Fa Ma
Bukedde TV2
Vision Group
Lugogo