Ensonga lwaki Levy yatemye Mourinho akabazi

Apr 20, 2021

Ensonga lwaki Danny Levy yatemye Mourinho akabazi zizuuse.

NewVision Reporter
@NewVision

Ensonda munda zaategeezezza nti Levy yafuumudde Mourinho kubanga abadde tayagala kufiirwa bazannyi be abamannya ttiimu kw'ebadde yazimbibwa ababadde batiisatiisa okwabulira ttiimu ku nkomerero ya sizoni eno.

Ku bano kuliko kapiteeni wa Spurs, Kane, Harry Winks, Dele Alli, Gareth Bale gwe babadde balinamu essuubi nti wadde ali ku looni okuva mu Madrid yandikuba enkyukira n'asigala mu ttiimu kyokka ekibaddewo ng'alaga tannakola kusalawo kuba emipiira gye yaakazannya wansi wa Mourinho gibadde gibarirwa ku ngalo.

Ye musajja wattu Delle Alli azannye emipiira 2 gyokka wansi wa Mourinho.

 

 
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});