Man City ne Spurs zaagala kikopo
Apr 23, 2021
OBA bw’abadde busungu, oba bukoowu, kizibu okutegeera lwaki Daniel Levy, atwala Spurs yasazeewo okugoba Jose Mourinho ku Mmande nga beetegekera fayinolo eno.

NewVision Reporter
@NewVision
Ekisookera ddala, weetaaga obuvumu obw’enjawulo okugoba omutendesi awangudde ebikopo 25 mu bulamu. Mu kiseera kino, Ryan Mason, omu ku baaliko bassita ba Spurs, y'aliwo okulwanagana ne Pep Guardiola, omutendesi asinga ebikopo ebingi e Bungereza. Teweetaaga kubeera mukugu nnyo mu mupiira okutegeera nti minzaani yeekubidde wadde nga omupiira tegunnaba kuzannyibwa.
Mason tabeerangako wadde omutendesi wa ttiimu y’ekyalo nga ye mutendesi omujjuvu. Guardiola abadde mu Barcelona (eyalumya buli omu omutwe), Bayern ne Man City. Ndowooza naawe kati ekintu okiraba?
Naye omupiira gumanyi okukola ebyamagero, ebintu by’otasobola kusanga walala wonna. Leicester yawangula Premier nga teri abasuubira. Ku fayinolo, Chelsea ya Di Mateo yatwalako Champions League ng'ekuba Bayern mu kisaawe kyabwe ekya Arianz Arena. Mourinho kennyini eyaakagobwa yakuba Guardiola era mu Champions League ku semi nga teri amuwa wadde akakisa akasookerwako.
Osanga Mason bino abimanyi, muli yeewulira nti naye asobola okukola ekyamagero. Ekirungi alina abazannyi; Spurs y'emu ku ttiimu ezisinga obulungi e Bungereza. Teri bazibizi beebaka nga bagenda kusanga Son, Lucas Moura, Harry Kane, Gareth Bale, Eric Lamela n’abalala.
Ssinga Mason asobola okupika obulungi abazannyi be naddala ku kyoto, Man City eyinza okufuna akaseera akazibu. Wiikendi ewedde, Chelsea yalaze nti teweetaga ggoolo nnyingi okukuba Man City.
Ekirungi ekiriwo kye ky'okuba nti Man City tekyalina maanyi mangi mu kulumba, sizoni eno eraze nti nayo esobola okwesiba ku kisenge okuwangula emipiira. Kino kitegeeza nti bw’obakuba ggoolo osobola okubazibira olwo bo ne balemwa okuyisaawo omupiira okukuteeba.
Wiikendi ewedde, Guardiola yabadde alina omukisa okuwangula ebikopo 4 mu sizoni emu, ekintu ekitalabwangako mu byafaayo by'e Bungereza. kyokka kati asigazza ebikopo 3. Osanga wiikendi eno w'eneeggweerako ng'asigazza 2, osanga wiikendi eno w'eneggweerako ng'akomezzaawo essuubi ly’okuwangula ebikopo 3.
No Comment