Chelsea ne Arsenal buli omu awaga

May 12, 2021

KU SSAAWA 4:15 ez’ekiro kya leero ku Lwokusatu, Chelsea ejja kuba ekyazizza Arsenal mu nsiike ya Premier etali yaakulwanira kikopo kuba Man City yakiwangudde dda!

NewVision Reporter
@NewVision

Ttiimu zino ebbiri, kati zirwanira bifo kuba Chelsea eri mu kyokuna, eyagala kyakusatu ng’ekiggyamu Leicester.

Yo Arsenal eri mu kyamwenda nga nayo erwana waakiri Premier egende okuggwaako ng’ezze mu bifo eby’oku mwanjo. Ensiike ya leero ya ‘London Derby’ era buli emu ku ttiimu zino, erwana kusuuza ginnaayo bubonero. Buli emu eggyeeyo ebyafaayo ebigiwa enkizo.

Kurt Zouma owa Chelsea (mu maaso) nga beeriga ne Gabriel Martinelli owa Arsenal gye buvuddeko

Kurt Zouma owa Chelsea (mu maaso) nga beeriga ne Gabriel Martinelli owa Arsenal gye buvuddeko

Ku kisaawe ng’ekyazizza, Chelsea terina mulundi gw’ekubiddwa Arsenal ku mirundi munaana gye basembyeyo okusisinkanawo. Ku egyo, Chelsea ewanguddeko 6 ate ebiri ne bagwa maliri. Arsenal yasemba okuwangula ng’ekyalidde Chelsea mu 2011, ng'olwo Chelsea etendekebwa Andre Villas-Boas.

Naye bino aba Arsenal tebibatiisizza nabo bajjuliza omupiira gwe baagiwangula ku Boxing Day y’omwaka oguwedde. Arsenal ye yali ekyazizza ku Emirates, n’ekubirawo Chelsea ggoolo 3-1. Bagamba nti kuno kwe bagenda okuzimbira ennumba zaabwe baddemu okugimegga.

Kino kiba kitegeeza nti ssinga Arsenal ewangula omupiira guno, ejja kuba ekubye Chelsea awaka ne ku bugenyi mu Premier nga kino yasemba okukikola mu sizoni ya 2003/2004.

Chelsea, ewangudde emipiira 3 gy’esembyeyo okuzannya okuli ne gwe yakubye bakyampiyoni (Man City) kyokka ne Arsenal ejulizza gwe yakubye West Brom ggoolo 3-1 mu gusembyeyo mu Premier. Chelsea eri wansi wa mutendesi Thomas Tuchel ate Arsenal etendekebwa Mikel Arteta. Anaasinga obukodyo, y'anaalya empanga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});