Arteta si musanyufu na mutindo gwa Arsenal

May 10, 2021

WADDE nga Arsenal yawangudde omupiira gwayo bwe yakubye West Brom ggoolo 3-1, omutendesi Mikel Arteta teyabadde musanyufu na mutindo ogwayoleseddwa.

NewVision Reporter
@NewVision

Arsenal nga yaakamala okuwanduka mu Europa League, yabadde yeetaaga obuwanguzi buno okusobola okukkakkanya emitima gy’abawagizi abaabadde abanyiivu olwa ttiimu yaabwe okuwandulwa Villarreal ku semi za Europa.

Arteta yagambye nti ttiimu ye bwe yamaze okuteeba ggoolo esooka, n’esuula ennanga ekyawadde West Brom ekyanya okwefuga omupiira.

Obuwanguzi buno tebwakomye kuwa Arsenal essuubi ettono ery’okukiika mu Europa League wabula bwazzizzaayo West Brom mu kibinja kya Championship.

Arsenal yawezezza obubonero 52 mu mipiira 35 ng’okubeera n’omukisa oguyitamu mu za Europa, erina okuwangula emipiira gyonna egibulayo. Emile Smith Rowe, Nicolas Pepe ne Willian be baateebedde Arsenal.

“Tugenda kugezaako okuwangula emipiira gyaffe gyonna egibulayo tulabe ekifo kye tunaamaliramu,” Arteta bwe yategeezezza oluvannyuma lw’omupiira.

Arteta yawaanye n’omutindo Bukayo Saka gwe yalaze. Omuzannyi ono yazannye nnamba ssatu kyokka kino tekyamulobedde kukolera Smith Rowe ggoolo.

Ku Lwokusatu, Arsenal yaakukyalira Chelsea, omupiira gwe yeetaaga okuwangula okumalira mu bana abasooka.

Oluvannyuma batabani ba Arteta baakukyalira Crystal Palace olwo basembyeyo Brighton ku Emirates nga May 23.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});