Gav't si yaakugoba ba bodaboda ne ba ttakisi mu Kampala
May 17, 2021
Minisita w'ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala agambye nti KCCA ng'eri wamu ne minisitule ye bakyakola okunoonyereza okuzuula entambula esinga so si kugoba bugobe abo ababaddewo.

NewVision Reporter
@NewVision
'' Tulinze lipooti ku kunoonyereza kwe tuzze tukola okuzuula enkola y'entambula y'olukale ennuŋŋamu enaakuza ekibuga kyaffe tulyoke tusalewo ku ky'okukolera aba boda n'aba ttakisi. Twagala okulaba nti bwe tuba tuleese bbaasi, ne ttakisi tulina bwe tuyinza okuzisigazaawo, ate bodaboda zidde wa so si kumala gagoba bantu.''Minisita Wamala bwe yagambye.
Bino Katumba yabyogeredde ku media center mu Kampala ku Lwokutaano bwe yabadde atongoza wiiki ey'okukuuma enguudo nga tekuli bubenje ekuzibwa mu nsi yonna nga ku mulundi guno wiiki eno eri wansi w'omulamwa ogugamba nti: Obulamu ku nguudo, tosukka sipiidi asatu nga baakugikuliza wamu ne bannamukago aba Global Fund.
Wamala yagambye nti okusinziira ku lipooti 2020, abantu 3663 baafa olw'obubenje ku nguudo, n'agamba nti okufa kw'abantu kuleka eddibu ddene nnyo eri eggwanga erikyakula nga Uganda naddala ng'abafa bali mu myaka gyakivubuka kubanga be bawa omusolo n'agamba nti bulina kuba buvunaanyizibwa bwa buli omu okukikuuma.
Ebimu ku bivaako obubenje bye yayogeddeko kwe kuli obutaguminkiriza n'endiima (36 ku 100), n'akubiriza abasaabaze ab'omummotoka ez'olukale okugambanga ku baddereeva okukendeeza sipiidi okutuuka ku 30km buli ssaawa.
OBUGAALI
Yeebuuzizza wa obugaali abantu bwe baali bavuga mu kiseera ka kkalantiini gye bwadda n'akubiriza abantu.
N'agamba nti minisitule eri wamu mu kuwagira abantu okukozesa obugaali kyokka KCCA enguudo okuvugirwa obugaali ze yassaawo abantu bazikozesezza bubi.
Gavumenti etteeka lya yalityisa mu 2014 ne minisitule n'erirongoosaamu
N'asaba abantu okwenyigira mu bigenda okubaayo wiiki eno ey'okukuuma enguudo.
Mu birala yavumiridde abakungu abakozesa obubi enguudo nga bawagaanya ne we kitasaanidde kw'ossa okuvuga endiima. N'agamba nti yawandiikira aba poliisi ku kufuga abakungu
Winston Katusabe kaminsona ow'ebyentambula n'okugaba layisinsi mu minisitule y'emu yagambye nti ebibonerezo eri abakola obubenje byakyukamu okuli:
Okukosa oba okutta omuntu, akikoze awa engazzi ya 2,000,000/- ,okusibwa omwaka gumu oba byombi. Yayongeddeko nti basobola n'okumuwera okuvuga nga kkooti bw'eba esazeewo
No Comment