Batongozza kampeyini y'okumanyisa Bannayuganda ebifa mu bitongole bya Gav't mu budde
May 16, 2021
EBITONGOLE bya gavument bitongozza kaweefube w’okulabanga binnyikiza okumanyisa ebikoleddwa gavumenti n’okumalawo amawulire ag’obulimba agasasaana ku gavumenti .

NewVision Reporter
@NewVision
Enkola eno etuumiddwa “This is my Uganda” abakulira ebitongole bya gavumenti n’abogezi baabyo mwebaganda okuyita okutegeeza abantu gavumenti by’ekoze ssaako enteekateeka ez’enjawulo ezijjaokubaganyula nga bayita ku mutimbagano n’emikutugy’amawulire.
Bw’abadde akulembeddemu okutongoza kaweefube ono ku ofiisi ye Col Edith Nakalema yagambye nti enkola eno egendereddwamu okumanyisa abantu gavumenti by’ekoze, okugumya abantu nti ebyokwerinda binywevu ssaako okukuuma abantu nga bamanyi ebigenda mu maaso mu bitongole eby’enjawulo.
Nakalema yagambye nti ssinga abakulira ebitongolebino tebavaayo kutegeeza ggwanga gavumenti byekoze, buli muntu ajja kwefuula ayogerera gavumenti kyokka nga bangi bagyogerera bibi byeerere.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministule ya tekinologiya, amawulire n’okulungamya eggwanga, Vicent Bagire Waiswa yagambye nti minisitule ye nneetegefu okuwagira enteekateeka eno kubanga nnungi okukwatagana n’abantu gavumenti beewereza.
Uganda 1
Bagire yayongeddeko nti abantu basaana okumanya ebikolebwa mu ssente z’omuwi w’omusolo n’olwekyo okuwuliziganya nabo kikulu nnyo.
Yayongeddeko nti era kijja kuyamba abantu okuvaayo okwogera engeri obulamu bwabwe gye bukyuse olwa pulojekiti za gavumenti .
Ebitongole bya gavumenti 37 bye bigenda okwetaba mu kaweefube ono nga bino kuliko; ekya Kampala Capital City Authority (KCCA), Uganda National Roads Authority (UNRA), Uganda National Bureau of Standards (UNBS), Uganda Registration Services Bureau (URSB), Uganda Civil Aviation Authority (UCAA), Uganda Revenue Authority (URA),Uganda Coffee Development Authority n’ebirala okulwanyisa amawulire amafu era agavumaganya gavumenti agatambula mu bantu naddala nga beeyambisa omutimbagano.
Abakulira ebitongole bino abasinga baabaddewo mu kutongoza kaweefube ono.
No Comment