Omukozi mu maka g'obwapulezidenti avunaanwa kubba bukadde 30
Mar 25, 2021
OMUKOZI mu maka g'obwapulezidenti asimbiddwa mu kkooti n'avunaanibwa okubba ssente obukadde 30 ezaali ez'okugulira abakozi emmere.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUKOZI mu maka g'obwapulezidenti asimbiddwa mu kkooti n'avunaanibwa okubba ssente obukadde 30 ezaali ez'okugulira abakozi emmere.
Kivumbi Ismail 37 omukozi mu State House e Nakasero ng'alabirira bimuli y'asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Marion Mangeni owa kkooti ya Buganda Road amusomedde omusango.
Ono omusango agwegaanyi n'asindikibwa mu kkomera e Kitalya okutuusa omwezi nga April 6.
Kivumbi omutuuze w'e Kawuku Entebbe kigambibwa nti omusango guno yaguzza nga February 25 omwaka guno bwe baamuwa ssente ezo agulire abakozi ku Okello House n'e Mbuya emmere kyokka n'azirya.
Yakwatibwa akakiiko akalwanyisa enguzi aka State House Anti Corruption Unit akakulirwa Lt. Col Edith Nakalema, ku kisaawe Entebbe ng'adduka mu ggwanga wiiki ewedde.
Omuwaabi wa gavumenti, Isaac Kyazze ategeezezza ng' okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso era ng'asabye kkooti okwongezaayo omusango guno.
No Comment