Mundoopere abakozi ba gavumenti abalya enguzi
Dec 01, 2020
AKULIRA akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g'obwapulezidenti, Lt. Col Edith Nakalema asabye abantu okumuloopera abakozi ba gavumenti bonna ebeenyigira mu kulya enguzi.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g'obwapulezidenti, Lt. Col Edith Nakalema asabye abantu okumuloopera abakozi ba gavumenti bonna ebeenyigira mu kulya enguzi.

Nakalema yabadde ku mukolo ogwategekeddwa ebibiina by'obwannakyewa ebirwanyisa enguzi ogwatuumiddwa ‘'Anti-Corruption Convetion 2020'' n'agamba nti ofiisi ye tesosola mu kika ky'abantu nga bakola emirimu gy'okulwanyisa enguzi.
Ono okwogera bino yabadde addamu okwemugulunya kwe yafuna ng'abantu bagamba nti abamu ku banene n'abakungu ba NRM abenyigira mu kulya enguzi akakiiko kano tekabakwatako wabula Nakalema agambye nti bonna be bamuloopera mu ofiisi ye abanoonyerezzaako era abaliko obujulizi batwalibwa mu kkooti.
Yagambye nti emirundi mingi gyakoze okunoonyereza ku bakungu mu gavumenti ng'abasinga beebamu ku be bayita abanene naye yabakwata oluvannyuma lw'okufuna obujulizi era bangi baasimbibwa mu kkooti n'abamu neb asulako mu kkomera.
Era yasabye abantu okumuloopera bonna ababafera nga beeyita abakozi mu maka g'obwapulezidenti ne babba mu ngeri ez'enjawulo naddala nga babasaba ssente ku nsonga ez'enjawulo. Yagambye nti ne bwaba mukozi mu kakiiko bamubuulire n'awera nti ssinga afunayo omu ku baakola nabo oyo wakukwatirwawo aggalirwe.
Olukung'aana luno lwategekeddwa ebibiina ebirwanyisa enguzi okuli ekya Action Aid, Anti-corruption Coalition Uganda, Transparency International n'ebirala era ababikulira baasabye abantu okwenyigira mu kulwanyisa enguzi.
Cissy Kagaba akulira Anti-corruption Coalition yasabye abantu okuloopa bonna ebalya enguzi olwo lwejja okugwaawo mu ggwanga.
No Comment