Ababadde bafera abantu okubatwala ewa Museveni Nakalema abakutte
Mar 13, 2021
AKAKIIKO ka State House Anti- Corruption Unit nga bakolera wamu ne poliisi bakutte abasajja babairi ababadde beeyita abakozi mu State House ne babba abantu..Abaakwatiddwa kuliko Lawrence Begumisa ne Ronald Rwabahangi nga bano okukwatibwa kyaddiridde okusaba omukazi ssente nga bamusuubizza okumufunira sikaala mu maka g’obwapulezidenti n’okubatwala okulaba pulezidenti.Bano baakwatiddwa ku lw'okuna akawungeezi nga basabye omukazi ( amannya gasirikiddwa) ssente obukadde busatu basobole okumufunira sikaali omwana we asobole okusoma.Wiiki ewedde akulira akakiiko ka State House Anti Unit Lt Col Edith Nakalema yalabula abantu bonna abeefula abakozi ba State House n'ategeeza nga bwebatagenda kuttira muntu yenna kuliiso.Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigyire agambye nti abaakwatiddwa essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti banvunaanibwe okwefuula kye batali.Oweyesigyire era asabye bona abanyagibwa abantu bano okuloopa ku poliisi n’okubuulira b'ekikwatako ssinga batuukirirwa abantu bebatategeera...

No Comment