Ssentebe agenze mu kkomera lwa kutunda mmotoka ya gavumenti.
Mar 25, 2021
SSENTEBE wa distukiti asindikiddwa mu kkomera lwa kutunda mmotoka ya gavumenti.

NewVision Reporter
@NewVision
SSENTEBE wa distukiti asindikiddwa mu kkomera lwa kutunda mmotoka ya gavumenti.
Francis Adamson Kiyonga 50, nga ye ssentebe wa distukiti y’e Amudat asimbiddwa mu kkooti y’eddaala erisooka e Matugga n’avunaanibwa okutunda mmotoka ya gavumenti eyamuweebwa okutambuza emirimu gy’abavubuka mu bitundu bya Karamoja.
Kiyonga yakwatiddwa akakiiko akalwanyisa obukenuzi n’obubbi mu bakozi ba gavumenti aka State House Anti Corruption Unit akakulirwa Lt. Col Edith Nakalema bwe yabadde adduka.
Kiyonga, mmotoka yamuweebwa mu 2017 okuva ofiisi ya ssaabamninisita okukola emirimu gya distukiti.
Mu 2017 kigambibwa nti mmotoka eno nnamba UG 0653Z Wreakage ekika kya Ranger Double Carbin yafuna akabenje mu ku luguudo lw’e Bombo era poliisi n’egitwala ku poliisi y’e Matugga .
Oluvannyuma Kiyonga yagenda ku poliisi eyo n’afuna mmotoka ng’amaze okutuukiriza obukwakkulizo bwonna naye oluvannyuma bagenda okugimubuuza nga terabikako.
Kigambibwa nti mmotoka eno ebalirirwamu obukadde 130 era Kiyonga baagenda okumukwata ngagitunzeemu sipeeya ng'asigazzaawo yingini yokka.
Kiyonga ng’ayita mu looya we, Jonan Nuwaninda asabye kkooti emukkirize okweyimirirwa kyokka abantu be babadde tebannatuuka omulamuzi n'amutegeeza nti kaamuwe olunaku olulala bajje nga beetegese bulungi.
Omuwaabi wa gavumenti Betty Twaidhukira Mpaata ategeezezza kkooti nti okunoonyereza kuwedde, bamuwe olunaku omusango gutandike okuwulirwa.
Omulamuzi Latif Abubaker Nakibinge owa kkooti y’e Matugga y’amusindise mu kkomera e Kasangati okutuusa nga March 31, 2021 lw’anadda asabe okweyimirirwa.
No Comment