KCCA etuyambe ku nguudo z'e Kitintale - Kansala
May 17, 2021
Muhammad Muwanika kansala wa L.C III e Mutungo yennyamidde olw’enguudo embi eziyitiridde mu kitundu ky'e Kitintale naddala mu kiseera kino nga enkuba eyitiridde okutonnya.

NewVision Reporter
@NewVision
Agamba nti mu kiseera kino basanga nnyo okusomoozebwa okutambula n’okutambuza eby’amaguzi byabwe naddala ng'enkuba etonnye nnyo olw’enguudo eziyitiridde ennyo obubi.
Agamba nti mu Kitintale balina enguudo bbiri zokka ezitegeerekekako nga kuno kuliko Kintu Road ne Cecilia Road ezisigadde zonna teziyitikamu mu kiseera kino.
Muwanika
Kansala Muhammad Muwanika
Agamba nti kyannaku nti n’ezo enguudo ezaakolebwa obulungi neziteekebwako n’amataala ate agamu tegakola nga kino kiwadde ababbi ebeetu okweyongera mu kitundu kino.
Muwanika alaze obwennyamivu nti singa obuzibu bw’enguudo n’ebitala tebikolebwako boolekedde akaseera akazibu akagenda okwongera obumenyi bw’amateeka mu Kitundu kyabwe.
Asabye bekikwatako okuvaayo okukola ku nsonga zaabwe zino kubanga nabo Bannayuganda era bawa omusolo.
No Comment