Abatuuze balumirizza bbulooka okutunda ettaka lyabwe eri Abachina
May 12, 2021
ABATUUZE bagumbye ku ttaka erigambibwa okuwambibwa bbulooka n’aliguza musigansimbi okuva e China ne bategeeza nti tebagenda kukkiriza kumala galitwala kuba eyalitunda talinaako kakwate.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya PETER SSAAVA
ABATUUZE bagumbye ku ttaka erigambibwa okuwambibwa bbulooka n’aliguza musigansimbi okuva e China ne bategeeza nti tebagenda kukkiriza kumala galitwala kuba eyalitunda talinaako kakwate.
Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Namigavu mu ggombolola y’e Kikandwa e Mityana nga liwezaako yiika 230.
Ettaka lino kigambibwa nti lyali lya Ezekiel Mugambe eyalifuna mu 1918 era agenda okufa mu 1930 yaleka talina wadde ekitundu kyatunze nga libaddewo nga ddamba n’okutuusa leero.
Aba famire nga bakulembeddwa omusika Fredrick Ssemuyaga Mugambe baategeezezza nti olw’okuba ettaka lyali ddene nnyo, abalikozesa baakozesaako yiika ntono kino, ne kiwa babbulooka ebbeetu okutandika okwagala okulyezza.
Mugambe yagambye nti babbulooka baatandika okwagala okwezza ettaka lino mu 2019 nga balaga nti baalifunako liizi era be balina obuvunaanyizibwa bwonna ku biki ebikolebwako. Mugambe agamba nti bbulooka omukulu (amannya galekeddwa) ye yabategeeza nti ettaka baliriko mu bukyamu.
“Twatuuka ku buli offiisi y’ebyettaka naye nga tewali mpapula ziraga liizi bbulooka ono gy’ayogerako era wano kwe kutandika okunoonya ebipapula byonna ebikwata ku ttaka jjajjaffe lye yaleka era kati mu kiseera kino bituli mu ttaano.” Mugambe bwe yayongeddeko.
Ssentebe w’ekyalo Namigavu, Moses Mayanja yategeezezza nti yagezaako okusaba bbulooka ono atwale empapula kwe yafunira liizi wabula nga buli lwalaga okugendayo tatuuka.
Yagambye nti yawandiikirako ne RDC w’e Mityana ebbaluwa eyita bbulooka ono annyonnyole gye yaggya obwannannyini ku ttaka naye teyalabikako.
Mayanja yasabye bamusigansimbi obutetantala kubaako kye bakolera ku ttaka lino kuba bbulooka eyabaguza talina kiwandiiko ku ttaka lino nga ne UNRA lwe yamuyita emusasule olw’okuyisa ekkubo mu ttaka, yalemwa okuleeta ekyapa ekiryogerako.
Bbulooka ono Bukedde bwe yamubuuzizza ebikwata ku ttaka, yategeezezza nga bw’atalina ky’ayinza kwogera ng’ensonga waakuzimalira mu kkooti n’abo be yagambye nti beeyita banannyini ttaka.
No Comment