Abaabulwako ebbujje mu katale ka USAFI bali mu maziga
May 14, 2021
Omwana Rahmah Nansamba eyabula kati emyezi mukaaga egiyise yeeraliikirizza bazadde be Sarah Namusuubo ne Yasin Matovu nga kati basiiba bakulukusa maziga.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya LAWRENCE KIZITO
Omwana Rahmah Nansamba eyabula kati emyezi mukaaga egiyise yeeraliikirizza bazadde be Sarah Namusuubo ne Yasin Matovu nga kati basiiba bakulukusa maziga.
Nansamba yabulira mu katale ka USAFI mu Kampala nnyina mwe yali akolera nga December 3,2020.
Rahmah Nansamba Eyabula.
Namusuubo agamba nti okuva olwo muwala we taddangamu kulabikako ekibatadde mu kusoberwa ng’ate n’abantu abaali bakwatiddwa omu poliisi yamuyimbula. Abazadde balumiriza nti eyayimbulwa y’asinga okumanya ebikwata ku mwana waabwe.
Bazadde be bagamba nti Nansamba we yabulira yali aweza omwaka gumu n’emyezi 10, nga mu kiseera kino bw’aba akyali mulamu awezezza emyaka 2 n’emyezi ena.
Namusuubo yali akolera mu katale ka USAFI ng’akongola bijjanjaalo n’enseenene ng’era akola ne muwala we ono mwe yabulira.
No Comment