"Abavubuka mwettanirenga ebibakulaakulanya''
May 14, 2021
Ssentebe w’eggombolola ya Wakiso Sub County, Felix Ssemujju Mwanje asabye abavubuka okwettaniranga ebibakulaakulanya bave mu kukozesa ebiragalalagala ebibaggya ku mulamwa ne bakola ebikyamu n’oluusi ne basibira mu makomera oba okuttibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Abu Batuusa
Ssentebe w’eggombolola ya Wakiso Sub County, Felix Ssemujju Mwanje asabye abavubuka okwettaniranga ebibakulaakulanya bave mu kukozesa ebiragalalagala ebibaggya ku mulamwa ne bakola ebikyamu n’oluusi ne basibira mu makomera oba okuttibwa.
Bino Mwanje abyogeredde ku mupiira ogwategekeddwa kkansala Abu Batuusa ku Iddi Alfitir ogwabadde wakati w’aba booda booda ne bamakanika ng’aba boodabooda be baaguwangudde ne baweebwa kimeeme w’embuzi.
Abantu basiimye Abu Batuusa olw’okukumaakuma abantu n’okubategeezanga ebifa mu kitundu kyabwe ng’abiwandiika mawulire ne ku Bukedde TV.
No Comment