Balemeddwa okukkaanya ku nzirukanya y’eby'omugagga w’e Muyenga
May 15, 2021
ABAKAAYANIRA eby'obugagga by’omugagga w’e Muyenga Hellen Nanfuka Wamala eyali nnannyini ssomero lya Muyenga High eyafa mu 2016 balemeddwa okukkaanya ku ngeri y’okubiddukanyamu, balinze kkooti kubasalirawo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKAAYANIRA eby'obugagga by’omugagga w’e Muyenga Hellen Nanfuka Wamala eyali nnannyini ssomero lya Muyenga High eyafa mu 2016 balemeddwa okukkaanya ku ngeri y’okubiddukanyamu, balinze kkooti kubasalirawo.
Obutakkaanya buno bulabikidde mu kkooti ejulirwamu ey’omulamuzi Remmy Kasule, Miwanda ne banne okuli Paul Kikabi, Edward Kaziraki, Joram Musoke ne Harriet Kamashanyu nga bali wamu n’ebitongole kya Maama Hellen Wamala Fund ne Christian Family Helpers gye baddukira nga baagala kkooti eno esooke eyimirize okuteeka mu nkola ekiragiro ekyayisibwa omulamuzi David Matovu owa kkooti y’amaka e Makindye eyabagoba mu byobugagga bino.
Oluvannyuma lw’okuteekaayo kusaba kwabwe kuno omulamuzi Kasule yabalagira basooke babeeko byebakkaanya nga tannaba kuwa nsala ye ku musango guno kyokka balemeddwa.
Lucky Henry Kalule omu ku bawawaabirwa yategeezezza kkooti nti bwe baabasindika okukkaanya Miwanda yalemwa okutuula wadde nga baamukubira essimu bw’atyo n’agamba nti ekigendererwa kya Miwanda kya kwagala kubaako kyakwakula okuva mu by’obugagga bino ng’omusango guno mwe yajjulira tegunnaba kusalibwa.
Wabula Miwanda naye agambye nti Nanfuka bwe yafa tewali kyakyusibwa era nga bwe byali webiri wabula Kalule baali bakola mu bitongole ne balemwa okukola obulungi emirimu ne babagoba.
Oluvannyuma lw’abantu bano okulemwa okukkaanya ng’omulamuzi Kasule bw’abade ayagala asazeewo obutabaako kiragiro kyayisa era n’abalagira okukomawo nga June,14, 2021 awe nsala ye ku kusaba kuno.
No Comment