Beewangulidde ebirabo bya USPA

OMUTEEBI wa Police, ne Hippos, Derrick Kakooza olukwasiddwa ekirabo kya 'Nile Special – USPA Monthly Award' n’ayongedde okukkaatiriza ng'ekirooto kye bwe kiri eky'okuwangula engule y'omuzannyi asinga mu Bulaaya. 

Beewangulidde ebirabo bya USPA
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Husina Kobugabe #Derrick Kakooza #USPA Monthly Award' #AFCON #Mauritania Hippos

Kakooza ye yatwala engatto y'obuteebi (yateeba ggoolo 5), mu mpaka za AFCON ez’abali wansi w’emyaka 20 ezaali e Mauritania. Ali mu Hippos (ttimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20).

Kuno bannamawulire abasaka ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA, kwe baasinzidde okumulonda ku buzannyi bw'omwezi gwa March era ku Lwokusatu n'akwasibwa engule ye, ku kijjulo kya 'Nile Special – USPA Monthly Dinner', ekyabadde ku wooteeri ya Imperial Royale mu Kampala. " Bakitunzi bange bakola butaweera okunfunira ttiimu mu Bulaaya, era bwe naatuukayo ng'enda kukola ng'akalogoyi ntuukirize ekirooto kyange," Kakooza bwe yannyonnyodde.

Kobugabe (ku kkono), Kakooza ne Naiga.

Kobugabe (ku kkono), Kakooza ne Naiga.

Mu ngeri y'emu, Husina Kobugabe (badminton) eyalondeddwa ku buzannyi bwa February ne Rukia Naiga (pool), eyatutte ekya January, baakwasiddwa engule zaabwe. Naiga yawangudde empaka za 'Lungu Southern Pool Tournament, ezaabadde e Zambia ate Kobugabe n'awangula emidaali gya zaabu ebiri mu mpaka za Uganda International ezaabadde e Lugogo.

"Kati ng'enda kukolerera bisaanyizo nsobole okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Commonwealth omwaka ogujja mu Birmingham e Bungereza," Kobugabe, omuyizi mu yunivasite y'e Ndejje, bwe yagambye. Naiga yagambye nti asibirira empaka z'eggwanga eza pool ziddemu, aziwangule, olwo yeevugireko kapyata, wabula ng'ekirooto
kye ekisinga kyakuzannyirako mu Bulaaya.

Ebirabo byabakwasiddwa Dr. Donald Rukare (ssentebe wa NCS), ne Moses Mwase (pulezidenti w’ekibiina ky’okuwuga). Ng'oggyeeko engule, abawanguzi baaweereddwa ensimbi emitwalo 50 buli omu.