Kasalabecca

Wuuno Dans Eko akooka nga Chaka Demus

DANIEL Kikomeko eyeeyita Danz Eko y’omu ku bayimbi abato abazze okuwa Bannayuganda essanyu. Wadde abayimbi bakyali ku muggalo, Danz Eko tatudde.

Wuuno Dans Eko akooka nga Chaka Demus
By: Musasi waffe, Journalist @New Vision

Akwataganye ne maneja we Sukuma owa Sukuma Entertainement ne xtreme Arts record label ne bakola ennyimba ezitandise okukubwa ku ttivvi ne leediyo ez’enjawulo nga beetegekera okuggulawo omuggalo.

Ennyimba ze yaakafulumya kuliko: Give me Love ne Vibe. Kyokka alina n’endala ze yasookerako okuli: Mu kidongo, Balibayo ne No Waste Time.

Eko bw'afaanana

Eko bw'afaanana

Mu luyimba lwa Give mi love, Danz Ko asaba omuwala amulya obwongo okumulaga omukwano kubanga ye muntu yekka gwalowoozaako, alina ka ffiga, langi emukuba era gwasula alowooza nga ne bw’abeera mu kizikiza abeera ayaka

. Ekidongo kye yatadde mu luyimba luno ne sitayiro gy’ayimbiramu eringa y’aba Cheka Demus & Pliers era abantu baamukazizzaako lya Chaka Demus wa Uganda.

Ate mu luyimba lwa Vibe, agamba nti alina omukwano mungi nnyo nga yeebuuza gw’aguwa. Yatuuse n’okugamba nti asindise essaala ze ewa Katonda ng’omuwala gwe yeegomba amukuumisa jjambiya abasajja baleme okumumutwalako.

 

Ate olwa Balibayo agamba nti yakkiriza nti abaana abalungi gye bali ng’era gwe yafunye asana kumuwa akamotoka mwatambulira abasajja baleme okumusumbuwa.

Engeri loodi ono gy’ali omuyimbi, omuwandiisi w’ennyimba, akola obwa DJ n’obusuubuzi, yasazeewo okuteekamu omusimbi ng’agamba nti omuntu yenna anoonya ssente, alina okuyimirira mu kkubo ly’emikisa anti omukisa gugwira yeetegese.

Danz Eko 36, abeera Seattle Washington. Bw’aba tayimba anyumirwa nnyo emizannyo nga kati ye muwandiisi mu kibiina kya ‘’Pacific Northwest Ugandan American Association (PNUAA)  2020/2022’’.

Tags:
Kasalabecca