Segawa gye buvuddeko abadde mu kkomera okumala ssabiiti ssatu nga yali avunaanibwa ne banne omwali Sheikh Yasin Nsubuga omusomesa we, omusango gw’obutujju.
Okuva Segawa bwe yava mu kkomera waayitawo akaseera katono n’agenda e Mecca okusoma Umrah era olwagimalirizza n’akomawo kuno.
Segawa nga bamukulisaayo okuva e Mecca
Ssegawa yagambye nti abadde talinnyanga ku nnyonyi era libadde ssanyu bwe yatudde ku ddirisa n’alaba ensi nga bw’etambula ng’ali waggulu.
Yategeezezza nti okulinnya ennyonnyi kubadde kumunaazaako maziga ga kkomera.
Segawa ng’ali ne Sheikh Nsubuga omusomesa we ku muzikiti gwa Markaz
Ono yagambye nti ayinze okumanya eddiini nga bw’etambula n’amanya n’engeri abantu gye baagalamu eddiini kuba eriyo balina ssente naye tezikola.
Ono asuubizza okuddayo okusoma Hijja asobole okutuukirizza ekirooto kye era ne yeebaza bonna abaamututte okulaba nga asoma eddiini ye.