Bannamukono beesunga kuwangula kapyata za Miss ne Mr Bukedde
Jan 05, 2022
ABANTU mu kibuiga Mukono basiibye boota buliro kapyata z'emmotoka ezirindiridde okuwangulwa anaalondebwa ku bwa Miss ne Mr. Bukedde.

NewVision Reporter
@NewVision
BYA DEO GANYANA
Bannamukono bategeezezza nti bali mu kulinda ani nnamukisa agenda okuwangula mmotoka zino era bakira abantu bazituulamu bawulire obuwoomi bwayo.
Omu ku bavuganya era ng’akyali mu mpaka zino Eva Miliisa akubirizza Bannamukono ne Uganda yonna okumulonda kubanga y’alina ebisaanyizo ebimusobozesa okuwangula Kapyata .
Wano n’omuyimbi Ssaalongo Siraje abaddewo era asabye Bruno Betty akazindaalo n’akuba mu bantu omuziki era naye n’akunga Bannamukono okwenyigira mu kulonda abantu baabwe be baagaliza okuwangula.
Akuliddemu enteekateeza zino Kenedy Mwota yategeezezza nti bannamukono babadde basanyufu nnyo okulaba n’okukukasa nti bya ddala era balayidde okwenyigira mu kalulu ppaka ng’omuntu waabwe gwe baagala awangudde.
Mukono1
Mukono9
Mukono11
Mukono2
No Comment