Olwo buli yabadde eyeesisigiriza wansi n’asituka azine okusobola okwenaazaako situleesi y’omuggalo mwe bamaze emyaka 2.

Abadigize ng'omuziki gubayingidde
Bino byabadde mu bbaala ya Legends e Naguru mu Kampala awabadde wategekeddwa akabaga aba Uganda Breweries limited nga batongoza omwenge gwabwe omupya ku katale Tusker Cider.

Guno gwatongozeddwa minisita omubeezi ow’eby’ensimbi Henry Musasizi eyasiimye ekitongole kino olw’okubeera abayiiya ennyo n’okuwa Bannayuganda emirimu.

Ebyana byayambalidde akabaga kano nga biringa ebyekulisa omuggalo, anti nga biraga emibiri. Bakira obwedda bituuka bwe byekubisa ebifaananyi by’okuteeka ku mikutu emigattabantu. Ngera obwedda bizinira mu bukukulu nga bwebirinda abayimbi.

Azawi ng'akuba abawagizi be omuziki
Azawi yalinnye ku siteegi ssaawa 4:00 ez’ekiro ebyana ne biraluka ne bizina amazina agasiibula omuggalo ne byesogga siteegi okuyimba naye. Bakanyama baagezezzaako okugoba abantu ku siteegi nga tebakkiriza okutuusa Azawi bwe yalagidde baleke abawagazi be beemale egoga.