Kabakko akubye ab'e Lukaya omuziki omudigize n'amugabira omwana: Wuuyo twala'

WIIKI eno ebadde yaakayisanyo nga Bannayuganda babinuka kye bayise okwekulisa omuggalo.

Kabakko akubye ab'e Lukaya omuziki omudigize n'amugabira omwana: Wuuyo twala'
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision

Kino kiwadde abategesi b'ebivvulu ne bannanyini bifo ebisanyukirwamu okufuna akaseko ku matama olw''okuddamu okwenogera ku nnusu mu badigize abazzeemu okubeeyunira.

Buli kabuga mw'otuuka buli ssaawa eyitawo wabeerawo ebiddongo ebiranga abayimbi ab'enjawulo n'enguliko mu bifo ebyenjawulo.

Kabakko nga bamukwasizza omwana omuwere nti bamumuwadde ye kitaawe

Kabakko nga bamukwasizza omwana omuwere nti bamumuwadde ye kitaawe

Dr Moses Byansi Kalyango nnannyini kifo kya Nana Hotel & Gardens e Lukaya mu Kalungu agambye nti abayimbi n'abadigize babettanidde nnyo buli omu ng'asaba kutimba.

Kino kyeragidde ku muyimbi  Kabakko ng'adding'ana okwebaza  Dr Byansi okumuwa omukisa n'ategekerawo Show mu kifo kye.

Omuyimbi Kabakko nga yeebaza omugagga Dr Byansi okumuwa omukisa nayimbirako mu kifo kye

Omuyimbi Kabakko nga yeebaza omugagga Dr Byansi okumuwa omukisa nayimbirako mu kifo kye

Dr Byansi agambye nti Meeya Walukagga  y'atimbye so  nga ne David Lutalo olwabaagalana mw'alutegekedde okululiira ne Bannakalungu n'emiriraano.

Bwe guli ne ku bifo ebirala ebiri mu Lukaya nga Domazo JJ Centre n'awalala ebiddongo by'etakabwetazi.

Byansi ategeezezza nti abantu babadde n'ennyonta y'okusanyuka olw'omuggalo gwe bamazeemu emyaka ebiri nga tebanyeenya ku biwato.