🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Vivian Tendo owa 'Hajjati wa Hajji'abavubuka b'e Kayunga abaleseemu 'looko'

OMUYIMBI w'ennyimba z'omukwano Vivian Tendo Ntubiro abangi gwe bamanyi nga Hajati wa Hajji yakubye abantu b'e Kayunga omuziki eggulo ku lunaku lw'abaagalana eggulo, abangi lwe bamanyi nga olwa Valentayini.

Vivian Tendo owa 'Hajjati wa Hajji'abavubuka b'e Kayunga abaleseemu 'looko'
By: Lawrence Mukasa, Journalist @New Vision

Olunaku luno lukuzibwa nga nga February 14, 2022. Eno abavubuka baamuyiikidde nga buli omu ayagala okuzinako naye waakiri amukwateko mu kiwato.

Vivivan Tendo ng'akuba abantu omuziki ogwakutte wansi ne waggulu.

Vivivan Tendo ng'akuba abantu omuziki ogwakutte wansi ne waggulu.

Tendo yasookedde Nansana ku Club ya Trust bar,navaayo nayolekera e Kakooge mu disitulikiti y'e Wakiso gye yasanze abaayo nga bamulindiridde nga Mmisa.

Wano ng'ebyana bimusazeeko

Wano ng'ebyana bimusazeeko

Bwe yavudde eno yamalidde ku Club ya Gabbos Inn e Kayunga gye yakubidde abaayo omuziki gwe gwonna okuva ku buyimba obukadde bwe yatandikirako omuli Hajjati wa Hajji, onkwata nga Onyango, Mu kati, Bw'olwawo n'endala nnyingi ezacamudde abadigize naddala abavubuka olwo ne balyoka bafuuweeta ebbidde kumpi kulimala mu birabo.

Wano ng'omuziki gukutte abawagizi.

Wano ng'omuziki gukutte abawagizi.

 

Tags:
Kasalabecca