Chris Evans olw'asuddemu akayimba ke akapya aka 'Weabale mukama' ,olwo abadigize abaabadde batudde mu butebe ne babuvaamu ne batandiika okuzina nga beebaza Mukama okubajja ku muggalo ng'eno bakira abafuuyi b'ebbidde beegiriisa nga ekigotta entula gyooli basiibula nsi!.
Bano baalabye tekibamalidde ne bamusalako ne bamuza gye baabadde batudde olwo n'atandiika okubakuba obuyimba bwe bwonna obw'omukwano.
Kyokka n'abasaba obutamusala nsawo kuba obusente bwe bwe yabadde nabwo baabadde baakabumufuuwa e Mateete gye yasoose era bwe yabadde agenda okugulamu ekikomando kuba talina amufumbira, ekintu eyasanyudde ennyo abantu ne bongera okumufuuwa endala, era naye teyabatimaye n'abasabula endongo eyabalesse nga basaba anko.