Zaagenze okuwera saawa 12 eza kawungeezi nga tokyalina woyisa kiggere era ku saawa emu nekitundu abayimbi be nyimba zeddiini abawerako okwabadde Levxione, Herbert Twina, Betty Nakibuuka n'abalala ne batandiika okusanyusa abantu era bakira abategesi babawa kasavu kanyama.
Bano bakira oluva ku siteegi nga abayimbi abalala okwabadde; Bebe cool, Rodeny Y Kabako,Spice Diana,Nina Roz nabalala bayingiddewo ne bakuba abantu obuyimba obwabacamudde okuzaama.
Ku ssaawa 4:10 omugole mulindwa, Paasita Wilson Bugembe yalinnye ku sitegi n'oluyimba lwa 'Mukama njagala kumanya' olwo enduulu eyabadde tesalikako n'eddamu okusaanikira ekifo kyonna nga tekoma.
Abadigize abaabadde bakulembeddwamu akulira abasawo b'ekinnansi mu ggwanga Maama Fiina, wamu ne Asia ne Charles bakira basituka mu butebe mwe baabadde batudde ne bakomerera enduulu eno nga bwe bawanika emikono mu bbanga mu ngeri y'okusinza omutonzi ate abandi ne badda mu kwekoonera bidde kumpi kulimalayo gye baabadde balitunda.




Kabakko ng'ayimba mu kivvulu kya Bugembe

Bebe Cool ng'asanyusa abawagizi

Maama Fiina ng'atendereza Katonda w'abanaku mu kivvulu kya Paasita Bugembe


Maama Fiina ng'afuuwa Paasita Bugembe mu kivvulu kya 'Katonda w'abanaku teyeebaka'

Paasita Bugembe ng'alya mu ndago

Asia ng'asabira Pr Bugembe okufuna omukyala


Paasita Bugembe nga yeebaza abantu abeeyiye mu kivvulu kye

Nina Roz bw'ati bwe yalabisse mu kivvullu kya Paasita Bugembe