Kasalabecca

Twaha Masanga ow'entunnunsi z'omukwano alemeddeko

Awandiika ebitabo ate nga muyimbi. Wadde embeera y’ebyenfuna yeeyongera kwekanama buli olukya, kino tekimugaanyi kufulumya nnyimba ze n’okuwa abawagizi be essanyu. Ono ye Twaha Masanga nga mu kiseera kino aleese oluyimba oluyitibwa ‘Entunnunsi z’omukwano’ n’alugatta ku ze yasooka okufulumya

Twaha Masanga omuyimbi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Emmanuel Ssebanenya

Awandiika ebitabo ate nga muyimbi. Wadde embeera y’ebyenfuna yeeyongera kwekanama buli olukya, kino tekimugaanyi kufulumya nnyimba ze n’okuwa abawagizi be essanyu.

Ono ye Twaha Masanga nga mu kiseera kino aleese oluyimba oluyitibwa ‘Entunnunsi z’omukwano’ n’alugatta ku ze yasooka okufulumya.

Mu luyimba luno, Masanga alombojja embeera gyayitamu amutadde ku bunkenke oluvannyuma lw’okufuna omugole. Alaga nti buli lwabeera ku mulimu tatereera ng’ayagala kwanguwa okuddayo awaka asange omwagalwa we kubanga ne by’akola ku mulimu takyabitegeera alowooza mukwano gwokka.

Ono atuuka n’ekiseera entunnunsi z’omukwano ne zimukuba naddala ng’atuuse mu kalippagano k’ebidduka ng’atya nti omugole we bayinza okumumutwalako.

Masanga azze afulumya ennyimba okuli:  King Mwanga, Jukira Katonda, Olunaku Mulindwa, Topapira mukwano,  Togaya mulimu, Namugema  n’endala nnyingi.