Aba Bukedde Family bayuugumizza Bbira ne Bulenga n'omuziki

BUKEDDE family eyuugumizza Bulenga bw’ekubye omuziki ogusombodde nnamungi w’omuntu ku kisaawe kya Bbira Primary School.

Aba Bukedde Family bayuugumizza Bbira ne Bulenga n'omuziki
By Brian Meembe
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Bbira #Bulenga #Bukedde

Mc maswanku ng'asanyusa abatuuze.

Mc maswanku ng'asanyusa abatuuze.

Omukolo guno gutambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti ; ‘okulwanyisa ebiragalalagala mu bavubuka.

Bano baasoose na kukola bulungibwansi okwetoolola ebyalo ebiriraanye Bulenga era wabaddewo wo n’omupiira wakati  w’abaami ba Bukedde n’ab’e Bulenga oguwedde nga teri ku bano alengedde katimba ate ogw’abakyala guwedde ne ggoolo 34 ku 19 ez’ab’e Bulenga.