Abayimbi abakyala abanoonya obuwanguzi mwekiririzeemu - Omunigeria Tiwa Savage

Jul 29, 2022

Bya Ignatius KamyaOmuyimbi Omunigeria Tiwa Savage asabye abayimbi abakyala Bannayuganda okwongera okwekiririzaamu bwe baba baagala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.Agambye nti abayimbi abakyala basobola bulungi okuvuganya abasajja n’awa eky’okulabirako ky’abayimbi abakyala Abamerika okuli: Nick Minaj, Beyonce n'abalala abakoze ennyo okulaba nga bavuganya abasajja mu kukuba omuziki era boogerwako kye kimu.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Bya Ignatius Kamya

Omuyimbi Omunigeria Tiwa Savage asabye abayimbi abakyala Bannayuganda okwongera okwekiririzaamu bwe baba baagala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.

Artist Nigeria3

Artist Nigeria3

Tiwa Savage bwe yabadde atuuka ku kisaawe e Ntebe. (Ignatius Kamya).

Agambye nti abayimbi abakyala basobola bulungi okuvuganya abasajja n’awa eky’okulabirako ky’abayimbi abakyala Abamerika okuli: Nick Minaj, Beyonce n'abalala abakoze ennyo okulaba nga bavuganya abasajja mu kukuba omuziki era boogerwako kye kimu.

Artist Nigeria Kaaaa

Artist Nigeria Kaaaa

Tiwa Savage ne mutabani we gwe yazze naye.

Amagezi gano agabaweeredde ku Sheraton Hotel mu Kampala mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Lwokuna ekiro.

Tiwa Savage asuubiza okufunayo omuyimbi omukyala omu gwakola naye Collabo naddala abo baagenda okuyimba nabo leero ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo. Mu kivvulu kino awerekeddwako Vinka, Winnie Nwagi, Karole Kasiita, Cindy n'abalala bangi.

Artist Nigeria4

Artist Nigeria4

Tiwa Savage yatuuse mu ggwanga ku Lwokuna nga July 28, 2022 nga yeeteekerateekera ekivvulu ku Lwokutaano nga July 29, 2022.

Guno gugenda kubeera mulundi gwakubiri nga Tiwa Savage ayimba mu Uganda nga yasemba okujja kuno mu 2015. Alina ennyimba nga ‘’Ma lo, Kele Kele, All over, Eminado, Lova lova n’endala.

Tiwa Savage ku by’okuyimba agattako okuwandiika ennyimba  n’okuzannya katemba. Yagenda e Bungereza nga w’amyaka 11, n’oluvannyuma n’atandika okusoma siniya. Ku myaka 16 yatandika okukuba omuziki ogumutuusizza ku ssanyu n’ebirungi by’aliko kati.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});