Omunigeria omulala Kizz Daniel akubye Bannakampala omuziki n’abaleka nga bamutenda.

Aug 08, 2022

KIZZ Daniel eggulo ku Lwomukaaga yabadde ku Lugogo mu kivvulu ekyakubyeko byana biwala biri ebyogerwako nti bye byalagirwa!Ono ye yakuyimbira oluyimba olwa ‘Buga’ olukutte kati Bannayuganda bonna omubabiro!

By Ignatius Kamya
Journalist @New Vision

Bakira ayimba oluyimba ng'eno bwe bamuyambako nga oyinza okulowooza nti ennyimba be baaziyimba anti nga bamanyi lunyiriri ku lunyiriri.

Kizz Daniel ng'akuba abantu omuziki.

Kizz Daniel ng'akuba abantu omuziki.

Abamu be twafunye akakisa okwogerako nabo baatutegeezezza nti bagenda mu bivvulu bya Banigeria kubanga bo balwawo okubalaba okwawukanako n'abayimbi b’awano be basanga kumpi buli wiikendi.

Kizz bw'afaanana

Kizz bw'afaanana

Abayimbi abalala abaayimbye kwabaddeko Navio, Ykee Benda, Laika n'abalala bangi.

Kyana kiwala nga kyetuzze ku Kizz Daniel eyakuyimbira 'Buga'

Kyana kiwala nga kyetuzze ku Kizz Daniel eyakuyimbira 'Buga'

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});