King K Interna, eyali owa Boyz in September aleese akayimba k'omukwano
Aug 08, 2022
King K Interna aleese ekipya ky'atuumye ABC Zimbabwe, nga luno luyimba lwa mukwano oluwaana obulungi abawala ba Africa bwe baliko.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Khasifah Naava
King K Interna nga amannya amatuufu ye Ayub Katumba Ssentongo, Munnayuganda ate nga alina obutuuze e Sweden gy'awangaalira bbendeera ya Uganda agiwanise mu ggwanga lya Sweden olwomuziki gw'abakuba ogumutadde ku ddala ly’ensi yonna.
Ono nga y'omu baali mu biina kya Boyz in September ayimbye ennyimba eziwerako okuli; Peku Peku, 123, Walking and walking, Maama Papa nga ku Album eno kwe kuli ne ABC Zimbabwe lw'akoledde vidiyo bulabe.
King K Interna ng'awaana omuwala
Okumanya teyeerabira gy'ava, vidiyo eno yakomyeewo ku butaka n'agikwatira wano e Muyenga wadde nga egenda kufulumira Sweden.
Agamba kino akikola okuzza ssente ku butaka gy'azaalwa nga awagira kampuuni za Bannayuganda.
Agamba abadde amaze ebbanga lya myaka ena nga ayimbira Abazungu naye eno pulojekiti gy'aliko kati ya Bannayuganda.
Yayongedeko nti ekyamutuumisizza oluyimba luno ABC Zimbabwe y’eng'ombo eriko etegeeza nti omuwala mulungi okuva wano paka Zimbabwe n'ekirala Zimbabwe etegeeza kinene nnyo mu byafaayo bya Africa.
Kolaasi w'oluyimba luno agenda bw'ati:
Ebirungi mutwale, obuggagga mutwale, amayumba mutwale naye ono omwana mumute, ebirungi byennina gyooli nkwagala nga bwooli, buno obukya buziba tondeka nga daalingi ne bwemba nfeedinze ensi ng'emyutinze tonvangako ABC Zimbwabwe ………n'ebirala.
Wabula aguumya abayimbi abato obutagwaamu suubi nti kubanga nabo batandika babazalawa naye kati byafunye mukuyimba bingi okuli amayumba emmotoka,omukyala abaana n’obutuuze munsi ya Sweden byonna abifunye lwakuyimba.
No Comment