Maurana ne Reign baleese ‘Amadda ga Mukaaku’Maurana Mukaaku’
Jun 05, 2025
Bombi bano, baatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire mwe baayanjulidde omuzannyo gwabwe; ‘Amadda Ga Mukaaku’ ogw’okubaawo ku Lwokutaano ku Iddi Adhuha ku Theater Labonita.
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
KAZANNYIRIZI Maurana Kasozi, ebyobufuzi bimuwunyira ziizi wadde nga munne Obed Lubega Reign bwe bakola komedi, alumbye kifo kya mubaka wa Palamenti owa Lubaga South.
Bombi bano, baatuuzizza olukung'aana lwa bannamawulire mwe baayanjulidde omuzannyo gwabwe; ‘Amadda Ga Mukaaku’ ogw’okubaawo ku Lwokutaano ku Iddi Adhuha ku Theater Labonita.
Baakubeera ne Madrat & Chiko, Amooti, Swahaba Kasumba, David Lutalo, Acidic Vokoz, n’abalala ng’okuyingira kwa 50,000/-, 100,000/- n’emmeeza ya kakadde.
Reign yasinzidde wano n’agumya abawagizi baabwe, abaabadde batidde nti ebyobufuzi byandimusuuzaawo katemba n’agamba nti okugenda mu Palamenti, akwongera ku buweereza bw’akola era tasobola kusuulawo komedi.
No Comment