Munnakatemba Reign bakimukoze ku kabaga k'amazaalibwa ge!...

Dec 05, 2023

KAZANNYIRIZI Reign ng'ono azannyira mu kibiina kya Maulana and Reign akiguddeko bw'abadde akuza amazaalibwa ge ag'emyaka gy'atayagadde kwogera.

NewVision Reporter
@NewVision
KAZANNYIRIZI Reign ng'ono azannyira mu kibiina kya Maulana and Reign akiguddeko bw'abadde akuza amazaalibwa ge ag'emyaka gy'atayagadde kwogera.
 
Ono baamuleetedde keeki ey'okusala wabula ng'akambe tekayitamu ne yeebuuza ogubadde! Yagenze okugibikkula nga tebangako keeki! Baddidde essepiki ne bawundirako ''icing sugar” olwo ne bamuteeramu ejjinja! Byamusobedde n'akolimira abaakikoze. 
 
Bano baabadde ku Sibyangu Hotel e Nateete nga basoose kumuyiira mazzi we kyasusse n'abasaba bamusonyiwe awo oluvannyuma mikwano gye gye baayise ne gituula wansi nga gisanyusibwa okuva mu bayimbi abenjawulo okwabadde; Big Eye, Victor Kamenyo, David Lutalo wamu n'abalala.
 
Omuko;lo gwetabiddwaako n'omubaka w'e Mityana Munisipaali, Francis Zaake, pulomoota Abtex Musinguzi n'abanene abalala mikwano gya Reign.
 
Abazze baatonedde 'birthday boy' ebirabo ne bamumalako ennaku y'okuyirwa amazzi n'okusala essepiki ng'alowooza keeki.
 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});