Oba lwaki Shakira Shakira anyumirwa okwenyogootolera awali Lutalo!!
Sep 29, 2022
DAVID Lutalo ye yasooka okweyisaako ng'alinga atayagala kuzinamu na Shakira Shakira mu kivvulu kye ekya Kabisi ka Ndagala ku African kyokka bwe kyamussukako yamaliriza amunyize!

NewVision Reporter
@NewVision
Omanyi ku Lwokoutaano oluwedde Lutalo yategeka ekivvulu kino ku Africana era abayimbi bangi abaagendayo okumuyimbirako e nga mw’abo mwe mwali ne kyana kiwala ki Shakira Shakira.
Lutalo yasoose kweyisaawo.
Ababiri bano baayimba akayimba kaabwe aka "Am in Love" nga wano Lutalo eyali yeesisiggiriza yamaliriza anyize Shakira era bombi baalabika nga banyumiddwa nnyo nga kirabika oluyimba lwabwe lwabacamula nnyo ku olwo!
Wano ate nga yeerese.
Ku nkomerero ate yeetutteyo yekka.
Related Articles
No Comment