Bano abaana ba bbooda tobanyumiza bikwekweto bya poliisi!!!
Nov 15, 2022
ABA bodaboda bantu abaasiba emitima abatatya biduduma ng’enjogera y’ennaku zino bw’egamba.
By Saul Wokulira
Journalist @New Vision
Mu kiseera kino nga ppikippiki ezisoba mu 10,000 ziboyeddwa poliisi y’ebidduka mu ggwanga lyonna, bo bano abakulu e Mukono tebakoma ku kutikka basaabaze babiri, wabula basukkawo, batikka abantu basatu n’okusoba!
Bano baabaddeko 5 ku bbooda emu!
Mu nsonga ezimu poliisi z’etakkiriza era zeekwatira aba bodaboda mwe muli okutikka abasaabaze abasoba mu babiri, abatalina erementi, lifulekita n’ebirala kyokka bano ba kitawe, batono nnyo abalina wadde ekimu ku bisaanyizo poliisi by’esaba.
Ono yaweese bookisi ekubyeko amapaapaali kyokka ne ku kameeme n'aweekerawo omusaabaze! Atatya ba bbooda gwe ntya!
Baayiga kimu kuvuga tebaagala kumanya. Abamu balina n’enjogera egamba nti buli mbwa n’olwayo, ate mbu n’okufa leero nfa enkya. Kati bagamba nti okufiirwa ensimbi nga badda mu bya poliisi egenda kubakwata, ka bagire nga babyanza bwe balibakwata baliraba ekiddako.
Waakiri okutuulako abasatu nga tebalinnye taxi!
No Comment