Ab'e Nakuwadde baasuze mu ngatto ku kasiki k'embuutu y'embuutikizi!
Nov 16, 2022
ABANTU b’e Nakuwadde basuze mu ngatto mu Kasiki k’Embuutu y’Embuutikizi ya Bukedde Bwaguuga egenda okubeerawo ku Lwomukaaga luno nga 19 mu luguudo wakati okumpi n’ekitebe kya kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde, mu Industrial area.

NewVision Reporter
@NewVision
Enguudo zonna zigenda kuggalwa abantu bakube endongo okuva kumakya okutuuka gye bunaagendera nga tewali abakuba ku mukono.
Godi Godi (ku kkono) ne MC Maswanku Katayira wa Bukedde nga bali n'abawala abaabadde ku kasiki.
Abayimbi bangi abagenda okusanyusa abantu okuli Eddy Kenzo, Gravity Omutujju, Pastor Bugembe, Chris Evans, Hennery Mwanje ,n’abalala okwo gattako ba Dj nga bakulembedwa Suuna Ben byonna ku 10,000/=.
Mu mbeera eno abakozi ba Bukedde bakyatambula mu bifo ebisanyukirwamu nga bakuba obusiki bw’ekivvulu kino.
Maswanku ng'ayogera n'abawagizi ba Bukedde.
Mu kiro ekikeesezza olwaleero aba Bukedde okubadde Godi Godi, MC Maswanku Katayira wa Bukedde ne Siraje Ssemugenyi basanyusizza abantu wakati mu ndongo y’ebinyaanyanyaanya ku Prime Gardens e Nakuwadde.
Ndowooza omuganda kino ky'ayita okubinuka amasajjere!
Abantu baazinye endongo ne batuuka n’okwambula amasaati ng’eno abamu bwe bakikinaza obubina ng’enswa ensejjere. Bano GodiGodi abagambye nti kibadde kubalozaako ku kigenda okubaayo mu Mbuutu nabo ne bagamba baakubaayo.
Nakuwadde70000
Emiryango gigenda kuggulwawo ssaawa emu ey’okumakya n’ekivvulu kiwagiddwa aba Jumia, MTN, Pilsner Lager ne Pepsi
No Comment