Bebecool ayanjudde enteekateka ya Tondeka e Kiwatule empya
Dec 21, 2022
OMUYIMBI Bebe Cool akyusizza Kiwatule okusobozesa abawagizi be okunyumirwa

NewVision Reporter
@NewVision
Ono yategeezezza nti ebinnonnogo byayongeddemu byakusobozesa abacakaze okwongera okunyumirwa mu ngeri y’obuvunaanyizibwa.
Ono leero b’wabadde atuuzizza olukiiko lwa bannamawulire e Kiwatule agambye nti Boxing day y’omwaka guno egenda kukyukamu kubanga ekivvulu akijje ku ludda lw’ekisaawe n’akiteeka mu Recreation Center awali eby’okuzannyisa by’abaana, swimming pool, amakubo ag’enjawulo n’ebintu ebirala.
Bebe Cool ng'annyonnyola enteekateeka empya.
Agambye nti kino akikoze olw’abawagizi abamu abazzenga bamugamba nti baba baagala okucakala ne ffamire zzabwe mu kivvulu ky’e Kiwatule naye nga beebuuza bwe banaamalako nabo naddala abaana nga kati ye ssaawa nabo banyumirwe.
Bebe agambye omuntu yenna asobola okujja kumakya n’anyumirwa ebimu ku bintu mu Recreation ng’eno bw’atuulako mu bisiikirize ebiri mu kifo olwono abaana nabo ne bagenda mu by’esuubo.
Omuntu agenda kuba asobola okutuuka ku bifo eby’enjawulo mu bwangu olw’amakubo agalimu ate nga n’abawagizi b’omupiira ku olwo abateereddewo entimbe ennene kwe bagenda okulabira omupiira gwa Bungereza.
Agambye nti obukuumi nabwo bugenda kubeera bwa maanyi nga buviira ddala ku kifo okutuuka mu bitundu eby’enjawulo okusobozesa abantu okutambula baddeyo mu Mirembe.
Abayimbi okuli Jose Chameleon, Azawi, Kenzo, David Lutalo, Spice Diana, Karole Kasiita, Zex Bilangilangi n’abalala bangi be bagenda okubaayo okucamula abantu kuno gattako bannakatemba ab’enjawulo.
Ekivvulu kino kiwagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde olupapula nga kyakubaawo ku Boxing day ng’okuyingira kwa 20,000/- ne 50,000/- kw’ossa n’emmeeza.
No Comment