'Tondeka e Kiwaatule' w'omulundi guno abooze n'ayitawo!
Dec 27, 2022
NGA bw’eri enkola ya buli mwaka ku Boxing day abantu okwesomba nga bagenda e Kiwatule, ku mulundi guno kyayitiridde!

NewVision Reporter
@NewVision
Big Size munene munene, manya Bebe Cool yatuukirizza buli kye yasuubiza okuli abayimbi abanene ab’enjawulo okuyimba, obukuumi obw’amaanyi eri abantu nga bagenda n’okuddayo awaka, okuteerawo abaagala emipiira entimbe we basobola okulabira liigi ya Bungereza n’ebirala bingi.
Abadigize nga bawanise obutebe ng'omuziki gubayingidde.
Kyabadde kijjobi kyennyini mu kivvulu kya Tondeka e Kiwatule anti buli muntu obwedda agenda awali ebimusanyusa era abantu baabinuse okutuukira ddala ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro nga nnyinimu Bebe Cool ye yakigadde..
Fik Fameica.
Eno waabaddeyo abayimbi bayitirivu okuli Chameleone, Eddie Kenzo, Paasita Bugembe, Levixone, Weasel, Azawi, Fik Fameica, Grenade, Mudra n’abalala nga be baasanyusizza abadigize.
Chameleone ng'ayimba e Kiwatule.
Bebe Cool yeebazizza abantu okugenda mu kivvulu n’ategezea nti ebintu byakwongera okutereera kubanga ate ne kumulundi gun o balabye eby’enjawulo bingi ate nga birungi gye bali.
Pasiita Bugembe ng'ayimba.
Kenzo naye yabaddeyo.
No Comment