Kenzo yagambye nti kyali kizibu okukkirizisa omutegesi okukyusa ekivvulu kino okukijja ku nnusu omutwalo ogumu gwe babaddenga basaba abantu ebbanga lyonna okudda ku mitwalo ebiri.
“Omutegesi yalina okutya nti ssinga tukiteeka ku mitwalo ebiri kiyinza okubeera ekizibu abawagizi okukittanira. Wabula nsi musanyufu kuba muzze mu bungi,” bwe yagambye.

Yategeezezza nti buli kimu mu kiseera kino kiri ku buseere omuli ensimbi ezipangisa ekifo, ebyuma n’abakozi, ensimbi eziranga ebivvulu n’ebirala nga kizibu okusigala ku ssente enkadde n’omalako mu kiseera kino eky’embeera y’eby’enfuna eyeekanamye.
Kenzo yalinnye ku siteegi ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro mu ttumbi n’annyuka ku ssaawa munaana ng’ayimbye ennyimba ezisoba mu makumi abiri okuli empya n’enkadde era yalese abawagizi tebatoma.

Ekivvulu kino era kyetabiddwako abayimbi okuli Sewa Sewa, Christopher Panda, bakazannyirizi okuli Kalera, Madrat ne Chiko ssako Bobi Brown ne Nilo Nilo.