Abavuganya mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde baatuukidde mu mizira ku Theater Labonita
Apr 30, 2023
ABAVUGANYA mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde baatuukidde mu mizira ku Theater Labonita

NewVision Reporter
@NewVision
ABAVUGANYA mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde baatuukidde mu mizira ku Theater Labonita okubbinkana okulondako Miss ne Mr owa sizoni ey’okubiri.
Wano nga bayimba oluyimba olw'awamu olwasoose.
Zigenze okuwera ssaawa 10:00 ez’akawungezi ng’abawagizi baabavuganya batuuse dda ku Labonita okubaawo ng’abajulizi n’omuwanguzi akwasibwa ebirabo bye n’okuwa abantu.
Ku ssaawa 11:00 ez’akawungezi abavuganya 10 batuuse mu mizira n’enduulu okuva mu bawagizi baabwe era bonna balabise ng’eryanyi balyewulira.
Abamu ku bantu abaatuuse ku miss ne mr Bukedde.
Waasooseewo omukisa gw’okwekubisaako ebifaananyi n’abantu baabwe era oluvannyuma ne balyoka baddizibwayo mu kasenge gye bavudde okujja okulagako abasazi b’empaka kye balinawo.
Obwedda abantu abatuuka nga banirizibwa pulezidenti w’olugambo Josephat Sseguya ne Lydia Nampijja. Empaka zino za mulundi gwakubiri era zimazze ebanga nga ziyindira ku Bukedde ttiivi buli lwa Ssande ng’abantu abasoba mu 700 be bazeetabamu.
Abasazi b'empaka.
Omuwanguzi wa miss ne mr buli omu yawereddwa ekyapa ky’ettaka ffuuti 50 ku 10 ne ssente obukadde 10 ate abaakutte eky’okubiri omuwala n’omulenzi buli omu n’afuna 5,000,000/=.
Aballi ku fayinolo 10 kuliko, Precious Ahaiseibwe w’e Makerere musawo, Gloria Mukoya nnamba w’e Mbale era muyizi ku Mbale SS mu S.6, Russel Mucki n w’e Ggaba muyizi wa S6 ku Maranatha High School Ggaba, Wise Man w’e Kawempe akola gwakuba ndongo ku luguudo, Edward Kisitu w’e Mityana musomesa ku St. Johns SS Mityana.
Bakazannyirizi Maulana ne Reign be babadde aboogezi.imba.
Abalala be Vivian Nambaziira w’e Mutungo atunda bibala n’ebyokunywa mu katale e Nakasero, Elsa Tawa w’e Mengo, Asia Nakiryowa w’e Seeta muzinyi mu kibiina ky’ekya Kitone, Esther Nalumu w’e Seeta asiika byakulya ne Esther Nimidde w’e Bulange asoma siiniya ya mukaaga ku Golden SS.
Akulira Vision Group, Don Wanyama naye yabaddeyo.
Empaka z’omulundi guno zitegekeddwa Bukedde ttiivi eri wansi wa Vision Group etwala n’Olupapula lwa Bukedde ne ziwagirwa aba Njovu Estate Developers e Nansana abagula n’okutunda ettaka, Life Care Company ltd abakugu mu kuyooyoota ensusu, aba Sums Foods abakola eby’okulya omuli n’obumpwankimpwanki ne Dexe Hair Shampoo abakugu mu kulabirira enviiri.
No Comment