Owa Bukedde akubye ab'e Nabweru ekikadde mu kinyaanyanyaanya n'abaleka nga basaba anko!

May 30, 2023

EKIKADDE mu binyaanyaanya kibafuukuddde omutaka Ssebwato bw’abakubye endongo abamu ne batandika n’okwekola obusolosolo okukira abalinyiddwaako emmandwa.

NewVision Reporter
@NewVision

Ekikadde mu binyaanyaanya kibafuukuddde omutaka Ssebwato bw’abakubye endongo abamu ne batandika n’okwekola obusolosolo okukira abalinyiddwaako emmandwa.

Ssebwato Mu Kikadde Ku Siteegi.

Ssebwato Mu Kikadde Ku Siteegi.

Bino byabadde Nabweru ku kisaawe ku Lwomukaaga ekiro mu kivvulu ky’omukozi wa Bukedde Fa Ma, Omutaka Julius Ssebwato amanyiddwa nga Kikadde Commander.

Sswebwato yabadde awerekeddwako bakulu be mu nsonga y’okutabula omuziki gw’ekinyaanyanyaanya ogukutte akati ensangi zino okuli Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny.

Ssuuna Ben, Omutaka Ssebwato ne Mbaziira Tonny. (1)

Ssuuna Ben, Omutaka Ssebwato ne Mbaziira Tonny. (1)

Kyabadde kika buka anti Ssebwato ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro yeesaze ekikadde okwabadde empale ya bellbottom n’ateekako sasupenda n’aweta omuggo ne leediyo ya kaseti wamma n’ayingira ku siteegi mu sitayiro.

 

Yayanirriziddwa wakati mu mizira okuva mu nnamungi w’omuntu eyabadde mu kisaawe era ono yeebazizza abantu abaamuwagidde ne banne abaamuwerekeddeko okwabadde ne Dj Ritah mwana muwala nnakinku mu kutabuala endongo.

Clever J Ng'ayimba.

Clever J Ng'ayimba.

Oluvannyuma yasumuludde ekikadde mu kinyaanyaanya ekyalinnye n’abamu ku jjoba ne batandika okwekola obusolosolo nga bwe beevulungula mu nfuufu okukira abatuddeko lubaale.

Abakazi Nga Banyumirwa Ekikadde.

Abakazi Nga Banyumirwa Ekikadde.

Abayimbi abedda okwabadde Chance Nalubega (Oshambada), Stellah Kayaga, Clever J n’abalala baakubye abantu endongo y’ekikadde ne bakakasa.

Abantu Nga Bawanise Amatabi G'emiti.

Abantu Nga Bawanise Amatabi G'emiti.

Abalala abaasanyusiza abantu kwabaddeko Flash Love, Stabua Natooro, Mary Batta, Henry Mwanje, Baza Baza, Dax Katel, Sauda Baagala gattako n’abayimbi abapya bangi wamu ne bakazannyirizi ba Mary Heart (Tumbetu).

Maswanku Katayira Wa Bukedde Ng'azina Ne Stabua Natoolo.

Maswanku Katayira Wa Bukedde Ng'azina Ne Stabua Natoolo.

Bakazannyirizi kwabaddeko Bruno Betty owa Bukedde, Mc Maswanku katayira wa Bukedde ne Bukutu.

Emmandwa Zaamulinnye Nga basuddemu ennyimba Z'ekinnansi.

Emmandwa Zaamulinnye Nga basuddemu ennyimba Z'ekinnansi.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});