Rovin Sanyu ow'eng'ombo ya Wuhuwuhu atandise kaweefube w'okuwandiisa ekibiina kya bayimbi abato
Jun 30, 2023
OMUYIMBI musaayi muto Rovin Sanyu atandise ku kaweefube w’okuwandiisa ekibiina ekigatta abayimbi abato
By Grace Namatovu
Journalist @New Vision
Omuyimbi musaayi muto Rovin Sanyu atandise ku kaweefube w’okuwandiisa ekibiina ekigatta abayimbi abato.
Ono yagambye nti abayimbi bakulu baabwe alaba bakola ebibiina eby’enjawulo kyokka nga bo tebabagulizibwako ku bigenda mu maaso nga ye nsonga lwaki yasazeewo okutandikawo ekibiina kya bato akitwalire federation ya Kenzo ng’alina essuubi nti banaafunanga okutegeezebwa ebigenda mu maaso mu kisaawe ky’ebyamasanyu.
Yayongeddeko nti kino yakitandiseeko na kusindiika looya we mu URSB awandiise eriinya ly’ekibiina.
Ono ajjukirwa nnyo okuleeta kuno munnakatemba Omunigeria Emmanuela mu 2019. Rovin yafulumizza n’endongo y’engombo eriko eya Wuhuwuhu ng’agamba nti ku mulundi guno bamwerinde kubanga omuziki alina mungi mu kabada.
Rovin agamba ng’oggyeko eky’eby’ekibiina alina ebintu ebirala bingi by’ayagala okukola omuli n’okuteekawo ekibiina ekiyamba ku bakyala abayita mu kusoomoozebwa okw’enjawulo ng’abaddukirira n’ebyokukozesabwa ssaako okuweebwa obubaka obuzzaamu essuubi.
No Comment