Chameleon wa maanyi mu kukuba omuziki, mumuwe ekitiibwa - Diamond Platinumz

Jul 17, 2023

DIAMOND Platinumz asabye Bannayuganda okuwa muyimbi munne Jose Chameleone ekitiibwa kubanga musajja wa maanyi bwe kituuka mu kukuba omuziki.

By Ignatius Kamya
Journalist @New Vision

DIAMOND Platinumz asabye Bannayuganda okuwa muyimbi munne Jose Chameleone ekitiibwa kubanga musajja wa maanyi bwe kituuka mu kukuba omuziki. 

Omukazi Bwe yasazeeko Diamond Platinumz.

Omukazi Bwe yasazeeko Diamond Platinumz.

“Chameleone muyimbi nnakinku mu kuyimba mu East Africa ne Africa okutwaliza awamu era njagala mumuwe ekitiibwa nga bwe nkimuwa” Diamond bwe yagambye. 

Omanyi ono ku Lwokutaano yabadde ayimba mu kivvulu e Kololo, era nga olwatuuse wakati g’okuyimba kwe yasabye Dj okukuba oluyimba lwa Chamili olwa Maama Mia lweyagambye nti alwagala nnyo ate era bingi byarugideko ng’omuntu. 

Abadigize nga banyumirwa okufa.

Abadigize nga banyumirwa okufa.

Diamond yagambye nti ekizibu kya bantu abava mu East Afrika bakungiriza nnyo abo ab’ensi endala ate ne bagezaako okunafuya abaabwe ekintu kye yagambye nti kisaanye okukoma era n'ategeeza Chameleon nti yonna gyali nti amwagala nnyo. 

Spice Diana Ng'ayimba E Kololo Ku Lwokutaano.

Spice Diana Ng'ayimba E Kololo Ku Lwokutaano.

Ono yaweerezza n’eyali muganzi we Zari akayimba ka Nkumira Omukwano aka Aziz Azion n'amwebaza olw'okumuzaalira abaana abalungi.  

Diamond yazze ku siteegi ku ssaawa 5:50 ez’ekiro yagunze abawagizi omuziki okutuusa ku 6:30 ez’ekiro era we yaviiridewo ng’abadigize bamutenda kuba na ndongo yakabi mpozzi n’okumanya okuzina amazina. 

Winnie Nwagi Ng'akuba Abantu Omubali.

Winnie Nwagi Ng'akuba Abantu Omubali.

Mu balala abaamuwerekedeko ye Winnie Nwagi, Spice Diana, Karole Kasiita, Alien Skin, Nameless okuva e Kenya n’abalala ate mu ba comedian mwabaddemu Madrat ne Chiko, Maulana ne Reign, Mariachi n’abalala. 

Alien Skin Ng'ayimba E Kololo.

Alien Skin Ng'ayimba E Kololo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});