Katonda ajja kuleeta omubeezi omutuufu ansaanira mu kiseera ekituufu - Desire Luzinda
Aug 03, 2023
Omuyimbi Desire Luzinda omukwano gwe yafuna mu Kristo tagulojja, era alina okukkiriza nti Katonda y’agenda okumwanjulira n'okumulaga omubeezi omutuufu.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuyimbi Desire Luzinda omukwano gwe yafuna mu Kristo tagulojja, era alina okukkiriza nti Katonda y’agenda okumwanjulira n'okumulaga omubeezi omutuufu.
Wadde nga waaliwo amawulire agaayiting'ana mu mitimbagano nga gamuyunga ku muyimbi wa gospel Levixone, Desire Luzinda tannafuna muntu mutuufu era akyalinze Mukama.
"Katonda ajja kuleeta omubeezi omutuufu, era ekiseera bwe kinaatuuka, nja kubategeeza," Desire bwe yagambye.
Desire yannyonnyodde nti mukyala Mulokole omukkiriza wa Kristo, era ekiseera ekituufu bwe kinaatuuka, Mukama ajja kumukubako omusajja amusaanira.
Desire akkiriza nti obufumbo mukisa okuva eri Katonda, era mugumu nti ajja kufuna ogugwe ng’ekiseera ekituufu kituuse.
No Comment